Gavumenti egenda kuyingila mubugugulano obuli mu makanisa ga'balokole

1428 Views Kampala, Uganda
Minisita avunanyizibwa ku nsonga zomunda Ruhakana Rugunda agambye nti gavumenti egenda kusitukilamu okutawuluza obugugulano obuli mu makanisa gabalokole agenjawulo. Waliwo obutakiliziganya kubyewuunyo ebikolebwa mu makanisa gabalokole agamu nti bikolebwa mu manyi ga sitani si Katonda. Omusumba Moses Male owa Arise for Christ Ministries n'Omusumba John Kakande owa Synagogue Church of All Nations wali e Mulago bebasinze okwogelwako ku nsonga eno. Male abadde asonga olunwe mu Kakande mu lujudde nti mulogo ela nti ajja ne nsimbi ku Bantu abagenda mu kanisa ye. Male emilundi mingi awulidwa nga'lumiliza Kakande obulogo ela mbu akozesa ebyamasitani okola ebyewunyo. Ye Kakande yeganye ebyo byona ebimwogelwako nti basumba bane bamusibako mattu gambuuzi. Rugunda asabye abasumba okusinza omutonzi wabula bafube okulaba nti bakyikola mu mateeka. Anyonyode nti gavumenti malilivu okulaba nti edembe'lyawebwa abantu okutendeleza Katonda nga bwebagala telilinyililwa ate kuletawo butabanguko mumakanisa. Ye Minisita avunanyizibwa ku byamawulire James Nsaba Buturo agambye nti obukubagano buno gavumenti ebukute ngo'butategelagana wakati wabantu babili so siwakati wamakanisa ga balokole. Buturo yeyongedeyo nagamba nti Abasumba bano ababili betaga okuweebwa amagezi ku ngeli gyebalina okwogela eli abantu.

 

Tagged with: born again churches